[go: nahoru, domu]

Jump to content

Kizza Besigye

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kizza Besigye

 

Warren Kizza Besigye Kifefe yazaalibwa nga 22 Ogwokuna mu 1956 ng'asinga amanyiddwa nga Colonel. Dr. Kizza Besigye, Munayuganda eyakuguka mu by'okujanjaba abantu, munnabyabufuzi, eyaliko munnamaggye mu Uganda People's Defence Force. Yaweerezaako nga pulezidenti w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) nga yeesimbawo ku bwa pulezidenti wa Uganda mu kulonda kwa bonna mu 2001, 2006, 2011 ne 2016 wabula gyonna nga pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni okuva nga 26 Ogwolubereberye mu 1986 yamuwangula. Ebyaava mu kulonda kwa 2006 byawakanyizibwa mu kkooti z'amateeka, ng'era kkooti yakizuula nga bwemwalimu okukyusakyusa obululu n'okulemesa abantu okulonda. Yakkiriza okulonda okw'amangu munda mu FDC okulaba amudira mu bigere nga pulezidenti, nga kino kyaliwo nga 24 Ogwekuminoogumu mu 2012.

Obulamu bwe ne famire

[kyusa | edit source]

Warren Kizza Besigye Kifefe yazaalibwa mu Rwakabengo, mu munisipaali ye Rukungiri mu disitulikiti ye Rukungiri mu bukiika kkono bwabugwanjuba bwa Uganda nga 22 ogwokuna 1956. Ye mwaana ow'okubiri mu famire abya baana mukaaga, wabula bazadde be bombi baafa nga tanamaliriza kusoma pulayimale. Kitaawe yali musirikale wa poliisi. Pulayimale yagisomera ku Kinyasano Primary School ne Mbarara Junior School. Oluvannyuma yeegata ku Kitante High School gyeyatulira siniya ey'okuna, gyeyava okugenda ku Kigezi High School mu disitulikiti ye Kabale gyeyatuulira siniya ey'omukaaga.

Besigye yeeyongerayo ku yunivasite e Makerere mu 1975 gyeyafunira diguli mu by'okujanjaba abantu mu 1980. Bweyali munsiko yeeyali omujanjabi wa Yoweri Museveni ow'okulusegere. Ng'ekibiina kya National Resistance Movement n'amaggye (NRM/A) webyajja mu buyinza mu gwolubereberye nga 26 mu 1986, yaaweebwa obwa minista omubeezi avunaanyizibwa kunsonga z'omunda ng'alina emyaka 29. Oluvannyuma yafuna ekifo kya minista omubeezi avunaanyizibwa kunsonga za pulezidenti, n'okuyigiriza wamu n'okusomesa ebikwata ku kibiina okulaba ng'abantu babeera beesiimbu gyekiri. Mu 1991, yafuuka aduumira amaggye mu Masaka mu masekati ga Uganda, nga mu 1993 yaweebwa ogw'okukulira amaggye, era nga y'avunaanyizibwa ku by'entambula y'eby'amaguzi okutuuka gyebirina okukozesebwa wamu n'obwa yinginiya.

Nga 7 ogwomusanvu mu 1999, Besigye yawasa Winnie Byanyima, eyali omubaka wa palamenti, e Nsambya, Kampala.[1]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Ng'amazze okutikirwa, Besigye yakolerako mu ddwaliro ly'e ggwanga erye Mulago. Oluvannyuma yagenda mu buwanganguse ku mulirwano e Kenya.

Bweyali eyo, yasaba akakiiko akavunaanyizibwa ku by'okwewandiisa ku by'eddagala okukola ng'omusawo, yasaba omulimu mu ddwaliro lya Aga Khan Hospital ogwamuweebwa n'atandika okukola ng'omusawo, ate oluvannyuma ku Kenyatta National Hospital nga gombi gali mu mu kibuga kya Kenya ekikulu ekya Nairobi nga tanaba kwegatta ku bayeekera ba Museveni aba National Resistance Movement / amaggye (NRM/A) mu 1982

Obulamu bwe mu by'obufuzi

[kyusa | edit source]

Mu 1999, Besigye yakola ekiwandiiko ekirumba gavumenti kyebayita "An Insider's View of How the NRM Lost the Broad Base". Ekiwandiiko kyali kirumiriza NRM okubeera nga ekozesa eby'obufuzi okulya enguzi, n'okubeera nga yafuuka ya musajja omu nakyemalira. Besigye baamutwala mu kkooti y'amagye nga bamuvunaana okufulumya endowooza zze ku mukutu mungeri enkyamu. Oluvannyuma baategeka okukaanya mu 2000 nga muno byebaali bamuvunaana byamusonyiyibwa singa yeetonda olw'okufulumya ekiwandiiko.

Mu gwekumi 2000, Besigye yalangirira nga bweyali agenda okwesiimba ku Museveni mu kulonda kwa bonna okwa 2001. Yawummula okuva mu magye ga Uganda People's Defence Forces mu 2001, ng'ali kudaala lya koloneeri. Mu kakuyege we, Besigye, eyali asinga okuvuganya Museveni, yalumiriza gavumenti olw'obuli bw'enguzi obwali buyitiridde, n'asindikiriza okukomekerezebwa kw'obukulembezze bwa Museveni, bweyali agamba bwali bumazze okuwereza omugaso bwago mu nkyuka nkyuka y'eby'obufuzi bwaUganda omwali okuleeta ebibiina by'obufuzi eby'enjawulo.

Yalemwa okuwangula okulonda kuno, kwebagamba nti kwaliwmu okubba obululu, obutabanguko n'okulemesa abalonzi wamu n'okubatiisatiisa. Mu gwokusatu 2001, Besigye yawaayo okusaba kwe mu kkooti enkulu baddemu okutunula mu byava mu kulonda. Akabinja k'abalamuzi bataano bakaanya 5-0 nti waliwo okubbira, naye nebasalawo 3-2, kuleme kuddibwamu.

Mu ogwomukaaga 2001, Besigye baamusoya ebibuuzo oluvannyuma lwa poliisi okumukwata nga bamulumiriza okulya munsi ye olukwe. Gavumenti yali emulumiriza okubeera emabega w'akabinja k'ekisikirize kebaayitanga People's Redemption Army (PRA) akaalina amakanda mu Democratic Republic of the Congo (DRC). Abawagizi ba Besigye baagamba gavumenti yatondawo okubeerawo kw'abayekera okwonoona ekifannanyi kye mu banayuganda n'ensi yonna.

Mu gwomunaana 2001, Besigye yadduka mu ggwanga ng'agamba baali baagala kumuteeka kukalabba. Yagamba nti yali atya okufiirwa obulamu bwe. Yabeera mu South Afrika okumala emyaka enna, ng'eno yasigala ovumirira gavumenti ya Museveni. Besigye yakomawo mu Uganda nga 26 ogwekumi mu 2005 mukaseera akaali ak'okwewandiisa ng'omulonzi mu kulonda kwa bonna okwa 2006. Yayanirizibwa namungi w'omuntu era n'atandikirawo kakuyege, ng'ayogerako eri enkumi n'ekumi z'abawagizibe okwetoloola eggwanga. Mu 2005 ogwekuminoogumu, William Lacy Swing, eyali akulira akiikirira ekibiina ky'amawanga amagatte United Nations mu bitundu bya Great Lakes region, omuli amawanga 10 okuli; Burundi, the Democratic Republic of the Congo (DRC), Ethiopia, Kenya, Malawi, Mozambique, Rwanda, Zambia, Tanzania ne Uganda. yakakasa okubeerawo kwa PRA, n'akayita akamu kububiinja bw'ebweru obwalina eby'okulwanyisa eby'okulwanyisa obwali bukolera mu buvanjuba bwa DRC.

Kakuyege wa Besigye yayimirizibwamu mubunambiro nga 14 ogwekuminoogumu oluvannyuma lw'okukwatibwa nga bamuvunaana okulya munsi ye olukwe n'ogw'obuliisa maanyi. Ogw'okulya munsi ye olukwe gwaali gwekuusa ku kibiinja kya PRA n'ogw'abayeekera ba Lord's Resistance Army abaali bamazze mu mubukiika ddyo bwa Uganda emyaka 20. Ogw'obuliisa maanyi gwaali gwekuusa ku musango gwebaali bamulumiriza mu 1997 ku eyali muwala wa mukwano gwe eyali yafa. Okukwatibwa kwe kwaviirako obwegugungo mu Kampala n'okwetoloola eggwanga. Museveni baali bamulumiriza okubeera nga yali ayogera kalebule eri omusajja eyali asinga okumuvuganya n'ekigendererwa ky'okwonoona ekifanannyi kya Besigye n'okumulemesa okwesimbawo mu kalulu ka bonna. Abantu mu ggwanga ne kumuntendera gw'ensi yonna baavaayo nebavumirira engeri Munseveni gyeyali adukanyamu emirimu, nga bamukubiriza okumuyimbula Besigye ku kakalu ka poliisi. Gavumeenti yayanukula ng'ewera enkungaana z'abantu zonna, obwegugungo, enkungaana z'ekika kyonna ezaali zeekuusa ku kukwatibwa kwa Besigye. Baayongerako nga bawera emikutu gy'amawulire okukubaganya ebirowoozo ku kukwatibwa kuno, nebatiisatiisa kampuni z'amawulire zonna nga webagya okusazaamu ebisaanyizo byazo ebizikiriza okuwereza singa bagaana okugondera okuwerebwa kuno.

Nga 25 ogwekuminoogumu, kkooti ya Uganda enkulu yakiriza Besigye okuteebwa nga bw'alindirira okuwozesebwa, wabula nadizibwayo mubunaabiro mu kkomera, ng'amaggye gamulumiriza okwenyigira mu butujju n'okubeera n'eby'okulwanyisa mu bumenyi bw'amateeka. Besigye yeegaana byonna byebaali bamulumiriza era n'agamba ng'eyawumula amaggye, yali tagwanidde kuwozesebwa mu kkooti y'amaggye. Kkooti yamuta nga bw'alindirira okuwozesebwa nga 6 ogwolubereberye. Wadde nga byebaali bamuvunaana byali bikyaliwo, Besigye yalina ekirubirirwa ky'okufuuka pulezidenti wa Uganda addako.

Okulonda kw'ogwokubbiri mu 2006

[kyusa | edit source]

Okulonda kwa bonna okwa 2006 kwalaba FDC ng'ekibiina ekyali kivuganya, nga Besigye y'asinga okuvuganya Museveni ku bwa pulezidenti. Yeesimbawo ne Miria Kalule Obote, omukyala eyasooka okwesimbawo ku bwa pulezidenti ng'ava mu kibiina kya Uganda People's Congress (UPC), Abed Bwanika talina kibiina, John Ssebana Kizito ku lwa Democratic Party (DP). Museveni yalondebwa ku kisanja ekirala eky'emyaka etaano ng'awangudde n'ebitundu 59 ku 100 ku bululu bweyasingisa ng'ate Besigye eyalina ebintu 37 ku 100. Besigye yeyali alumiriza ebikyamu ebyakolwa mu kulonda kuno yagaana ebyali bivuddemu. Kkooti enkulu eya Uganda yakifulumya oluvannyuma ng'okulonda kuno bwekwalimu okutiisatiisa, okutulugunya, okulemesa abantu okulonda, ne kiremya omulala. Wabula kkooti neeronda 4-3 okukiriziganya n'ebyali bivudde mu kulonda.[2]

Okulonda kw'ogw'okubiri mu 2011 n'ebyavaamu

[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa 2011 Besigye omulundi ogw'okusatu ogw'omudiringanwa yavuganya Yoweri Museveni eyali, aserebye okusinziira ku bululu bweyali azze afuna emabega, kuba yalemererwa okuwangula ekitundu n'ekimu. Wadde ng'okulonda baakutendereza ng'okwali okw'emirembe n'amazima mu byafaayo bya Uganda,[3]  Besigye yalumiriza gweyali avuganya nti yakozesa okutiisatiisa n'okubba okusobola okuwangula ekisanja eky'okunna mu woofiisi.


Olw'okuba yakola bubi mu kulonda kw'obwa pulezidenti mu 2011, Besigye yalagira ba memba b'ekibiina kye abaali balondeddwa mu palamenti ey'omwenda, okubigaana. Kino kyagaanibwa ababaka ba palamenti abaali bakalondebwa, nga bagamba obuwanguzi mu kulonda kuno bwali buvudde mungalo zaabwe, nga sibibyali mu za Besigye oba ez'ekibiina, ekyaleetawo obutali butebenkevu mu FDC. [4]

Besigye yakwatibwa omulundi ogwokuna nga 28 ogwokuna bweyali atambula okugenda ku mulimu, mungeri y'okuwakanya ebeeyi y'emere n'amafuta. Baamufuuyira kamulali, [5] era poliisi neemusikambula okuva mu mmotoka ye.[6] Eno yali entandikwa y'obwegugungo ekyavirako okwekalakaasa okwetoloola Kampala, omwafiira abantu babiri ate abantu 120 nebafuna ebisago ekyaletera abalala 360 okukwatibwa.[7]

Eteeka erigaana obuli bw'ebisiyaga

[kyusa | edit source]

Besigye yawakanya okukomyawo eteeka eryali liwakanya obuli bw'ebisiyaga mu Uganda mu palamenti ya Uganda ey'omwenda eryali likolebwa omubaka David Bahati eyali atuula emabega. Besigye okubeera nga yali awagira abali b'ebisiyaga, yali nsonga eyaletawo obutakaanya mu Uganda kuba okulya ebisiyaga musango wansi wagubeera musango mu kawaayiro k'amateeka ga Uganda.

Okukwatibwa mu 2012

[kyusa | edit source]

Besigye yakwatibwa nga 1 ogwekumi mu 2012 oluvannyuma lw'okwagala okwogerako eri abatembeeyi mu katale k'ewa Kiseka mu Kampala, Uganda. Yatwalibwa ku kitebe kya poliisi ekikulu ekya central police station mu kibuga.[8] Mukusooka, poliisi yali eyiye abasirikale baayo mu maka ga Besigye okumulemesa okugenda mu kabuga okubeera n'olukungaana lwe, naye yasobola okutoloka ku b'eby'okwerinda n'agenda mu kifo ekitayogerwa paka poliisi bweyamukwata ng'ali mu katale k'omu kibuga oluvannyuma lw'esaawa.[8]

Okulonda kwa 2016

[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa 2016, Besigye yaddamu okwesimabwo ku bwa pulezidenti ng'agidde mu FDC ng'avuganya abaali beesimbyeyo nga bamannyikiddwa nga Amama Mbabazi ne Yoweri Museveni,eyali pulezidenti wa Uganda okumala emyaka 30. Besigye neera yawangulwa Museveni, ng'afunye obululu ebitundu 34 ku 100, ate Museveni n'awangulira ku bitundu 62 ku 100.[9]

Ebyava mu kulonda kuno, yategeeza abawagizi bbe okwegugunga mungeri y'emirembe nga bawakanya ebyali bifuddemu, nga bagamba okulonda kuno kwalimu obubbi, okutiisatiisa abalonzi, okuteeka ab'oludda olwali luvuganya mu makomera, okutataganya enkungaana z'abalonzi, ebikozesebwa mukulonda byatusibwa kikerezi mu bifo gyebalondera, obululu obukyamu mu bifo gyebalondera ebitayogerwa, okuwa enguzi, ssaako n'ebintu ebirala ebyali bimenya amateeka[10][11]

Mu ogwokutaano nga 11 mu 2016 yeerayiza ng'omukulembezze wa Uganda mu kyama ng'ebula olunaku lumu omukolo gw'okulayizibwa kwa pulezidenti Yoweri Museveni okutongole kubeerewo. Yakwatibwa amaggye ga Uganda mukaseera katono nga tanagenda mukulayizibwa kwe. Oluvannyuma ennyo yatandikawo ekibiina kya "The peoples government" oba gavumenti y'abantu, n'alangirira gavumenti nga bweyali akiriza nti yeyali omuwanguzi omutuufu mu kulonda kwa 2016.[12][13][14]

Okulonda kwa 2021

[kyusa | edit source]

Besigye yasalawo obutesimbawo ku bwa pulezidenti mu kulonda okwali kujja ng'agamba agya kukulmebera oludda oluvuganga muntegeka ‘B’ okuleetawo enkyuka kyuka mu ggwanga.[15][16] Agenda okwegata ne Bobi Wine eyali asinga okuvuganya Museveni amuyambe okuwangula okulonda kwa 2021.[17] Oluvannyuma lw'okulonda kwa 2021, Besigye yatongoza ekibiina kya people's front for transition, ekibiina ekyali kyegatidde awamu n'ekirubirirwa ekimu eky'okukyusa Uganda.[18][19][20]

Okukwatibwa mu 2022

[kyusa | edit source]

Mu ogwokutaana mu 2022, Besigye yakwatibwa nga yeegugunga olw'ebeeyi y'ebintu mu Uganda eyali erinyira ku sipiidi.[21] Yateebwa omulamuzi wa kkooti esooka eya Buganda Road, nga bwalindirira okuwozesebwa, wabula kakwakulizo nti yali wakusasula ssente za Uganda 30,000,000/= nga ssente z'okumweyimirira mu kooti. Mu kwegugunga ku by'ebeeyi y'ebintu eyali erinya, Besigye yagaana ekyaali kimugambiddwa, n'asaba okutwalibwa mu kkomera.[22] Banamateeka bbe nga bakulembeddwa Erias Lukwago baasaba okukedeezebbwa kwa ssente ezaali zimusabiddwa mukweyimirirwa, ekyakirizibwa nga ekintu kyakirizibwa, nga Besigye yategezebwa okusasula 3,000,000/=.[23] Yakirizibwa okweyimirirwa era n'avaayo mu komera.

Oluvannyuma lw'enaku entono ng'atekeddwa okuva mu kkomera nga bw'alindirira okuwozesebwa mu kkooti, Besigye yaddamu okwegugunga kunguudo z'omu Kampala ekyaleetera nga poliisi ya Uganda okumwanguyira nga n'emukwata.[24] Yakwatibwa ne munywanyi we we Samuel Lubega Makaku, nebsindikibwa mu kkomera. Okusaba kw'okweyimirirwa kwaganibwa esaawa z'ekooti zaali ziyiseeko nga banamateeka bbe balina okusaba okweyimirirwa olunaku oludako. Engeri ekkooti gyeyali yeeyisaamu yawakanyizibwa banamateeka ba Besigye abaalemerako nga bagamba gwebaali balumiriza yali akoleddwako omulamuzi eyali mubuyinza nga wayise esaawa gy'emiriu emitongole egy'e kkooti. Okusaba kwabwe okw'okweyimirirwa okwajuzibwa, wabula nekuganibwa era nekugobebwa omulamuzi w'edaala erisooka Asuman Muhumuza owa kkooti ya Buganda road ng'agamba yali teyeekakasa oba Besigye taddemu n'akola ebintu byebimu, singa anaateebwa nga yeeyimiriddwa neera.[25]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. Tumusiime, James; Nsigaye, Sarah (8 July 1999). "Winnie weds Col. Besigye". The Monitor. No. 189. pp. 1–2.
  2. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/4750040.stm
  3. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/4750040.stm"Uganda's Museveni wins election", BBC, 25 February 2006
  4. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/4750040.stm"Uganda's Museveni wins election", BBC, 25 February 2006
  5. https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-13255025
  6. https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-13222227
  7. https://www.theguardian.com/world/2011/apr/29/uganda-riots-kampala-museveni
  8. 8.0 8.1 http://allafrica.com/stories/201210011085.html
  9. http://www.cnn.com/2016/02/20/africa/uganda-election/index.html
  10. https://web.archive.org/web/20160223023648/http://www.ugandadiasporap10.org/
  11. http://www.aljazeera.com/news/2016/02/uganda-elections-besigye-held-march-planned-160222065601088.html
  12. https://thetowerpost.com/2019/02/15/besigye-unveils-peoples-government-cabinet-assembly/
  13. https://www.youtube.com/watch?v=3qPYdLK66Nk
  14. https://www.youtube.com/watch?v=AYfJLsmqmQQ
  15. https://www.newvision.co.ug/news/1535901/lose-hope-elections-dr-besigye-tumukunde-tells-ugandans
  16. https://www.independent.co.ug/will-fdc-maintain-grip-on-teso-without-besigye/
  17. https://www.europapress.es/internacional/noticia-principal-candidato-opositor-uganda-suspende-campana-morir-guardaespaldas-manos-policia-20201228135651.html
  18. https://www.newvision.co.ug/articledetails/120836
  19. https://www.independent.co.ug/peoples-front-for-transition-kicks-off-countrywide-mobilization/
  20. https://www.independent.co.ug/peoples-front-for-transition-to-kick-off-countrywide-mobilization-next-week/
  21. https://www.monitor.co.ug/uganda/pictorial/besigye-arrested-in-downtown-kampala-3826206
  22. https://softpower.ug/besigye-refuses-to-pay-shs30m-bail-sent-to-luzira/
  23. https://softpower.ug/court-revises-besigyes-bail-from-shs30m-to-shs3m/
  24. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/besigye-arrested-again-for-protesting-high-commodity-prices--3848008
  25. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-20. Retrieved 2022-11-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)