[go: nahoru, domu]

Jump to content

Mukotani Rugyendo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mukotani Rugyendo (eyazaalibwa mu Kigezi, 1949) Munnayuganda omuwandiisi w'ebitontome, ebiwandiiko ate era munnamawulire, alabika okuba nga yasinga kumanyika olw'ekitontome kye ekimanyiddwa nga "My Husband Has Gone".

Yatikkirwa ddiguli ku University of Dar es Salaam mu mwaka gwa 1973 gye yasunsulira journal ey'ebyekiyivu emanyiddwa nga Umma. Mu mwaka gwa 1977, yafulumya ekitabo ekiyitibwa The Barbed Wire n'emizannyo emirala (The Contest ne And the Storm Gathers) mu kitabo ekiyitibwa Heinemann's African Writers Series. Mu kiwandiiko eky'enkizo ekiyitibwa "Waiting for Amin: Two Decades of Ugandan Literature, omuyivu mu ggwanga lya Uganda amanyiddwa nga Peter Nazareth, nga kaakano asangibwa ku University of Iowa, bino by'ayogera ku Rugyendo, "Alina endaba ey'amaanyi eri ebizibu ebyajjawo oluvannyuma lw'obufuzi bw'amatwale, mu kugezaako okutondawo katemba w'enkyukakyuka okuyita mu bubaka n'ekikula ky'ebyo by'awandiika".[1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. The Writing of East and Central Africa, edited D. G. Killam. London: Heinemann, 1984, p. 29

Lua error: Invalid configuration file.